Read Okubikkulirwa Chapter 3 Online
Read Okubikkulirwa Chapter 3 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Okubikkulirwa in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Okubikkulirwa and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Okubikkulirwa 3
Essuula 3
1. Era eri malayika ow'ekkanisa y’omu Saadi wandiika nti Bw’ati bw'ayogera oyo alina emyoyo omusanvu egya Katonda, n’emunyeenye omusanvu, nti Mmanyi ebikolwa byo, ng'olina erinnya ery'okuba omulamu, era oli mufu.
2. Tunula, onyweze ebisigaddeyo ebyali bigenda okufa: kubanga ssaalaba ku bikolwa byo ekyatuukirira mu maaso ga Katonda wange.
3. Kale jjukira bwe waaweebwa ne bwe wawulira; okwate, weenenye. Kale bw'otalitunula, ndijja ng’omubbi, so tolimanya ssaawa gye ndijjiramu gy'oli.
4. Naye olina amannya matono mu Saadi agataayonoona ngoye zaabwe: era balitambula nange mu ngoye njeru; kubanga basaanidde.
5. Bw'atyo awangula alyambazibwa engoye enjeru; so sirisangula n'akatono linnya lye mu kitabo ky'obulamu, era ndyatula erinnya lye mu maaso ga Kitange ne mu maaso ga bamalayika be.
6. Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa.
7. Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Firaderufiya wandiika nti bw’ati bw'ayogera oyo omutukuvu ow'amazima, alina ekisumuluzo kya Dawudi, aggulawo, so tewali muntu aliggalawo, aggalawo, so tewali muntu aggulawo, nti
8. Mmanyi ebikolwa byo (laba, nnateeka mu maaso go oluggi olugguddwawo, omuntu yenna lw'atayinza kuggalawo) ng'olina amaanyi matono n’okwata ekigambo kyange, so tewegaana linnya lyange.
9. Laba, ab'omu kkuŋŋaaniro lya Setaani abeeyita Abayudaaya, so si bo, naye balimba; laba, ndibaleeta okusinza mu maaso g'ebigere byo era ndibamanyisa nga nnakwagala.
10. Kubanga weekuuma ekigambo eky'okugumiikiriza kwange, era nange ndikukuuma obutayingira mu kiseera eky'okukemebwa, ekigenda okujja ku nsi zonna, okukema abatuula ku nsi.
11. Njija mangu: nyweza ky'olina, omuntu yenna aleme okutwala engule yo.
12. Awangula ndimufuula empagi mu yeekaalu ya Katonda wange, so talifuluma nate bweru: nange ndiwandiika ku ye erinnya lya Katonda wange n'erinnya ly'ekibuga kya Katonda wange, Yerusaalemi ekiggya, ekikka okuva mu ggulu eri Katonda wange, n'erinnya lyange eriggya.
13. Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa.
14. Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Lawodikiya wandiika nti Bw'ati bw'ayogera oyo Amiina, omujulirwa omwesigwa era ow'amazima, olubereberye lw'okutonda kwa Katonda, nti
15. Mmanyi ebikolwa byo, nga tonnyogoga so tobuguma: waakiri obe ng'onnyogoga oba obuguma.
16. Bwe kityo kubanga olina ekibuguumirize, so tonnyogoga so tobuguma, ndikusesema mu kamwa kange.
17. Kubanga oyogera nti Ndi mugagga, era ngaggawadde, so ssiriiko kye nneetaaga, so tomanyi ng'oli munaku ggwe era asaasirwa era omwavu era omuzibe w'amaaso era ali obwereere:
18. nkuweerera amagezi okugula gye ndi ezaabu eyalongoosebwa mu muliro, olyoke ogaggawale, n'engoye enjeru, olyoke oyambale, era ensonyi ez'obwereere bwo zireme okulabika; n'eddagala ery'okusiiga ku maaso go, olyoke olabe.
19. Nze bonna be njagala mbanenya, era mbabuulirira: kale nyiikira weenenye.
20. Laba, nnyimiridde ku luggi, nneeyanjula: omuntu yenna bw'awulira eddoboozi lyange, n'aggulawo oluggi, nnaayingira gy'ali, era nnaaliira wamu naye, naye nange.
21. Awangula ndimuwa okutuula awamu nange ku ntebe yange ey'obwakabaka, era nga nange bwe nnawangula, ne ntuula wamu ne Kitange ku ntebe ye ey'obwakabaka.
22. Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa.
About Okubikkulirwa Chapter 3
Read Okubikkulirwa Chapter 3 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Okubikkulirwa in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Okubikkulirwa
Chapter: 3
Testament: New Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Okubikkulirwa. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Okubikkulirwa Chapter 3 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Okubikkulirwa Chapter 3?
Okubikkulirwa Chapter 3 is part of the Book of Okubikkulirwa in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Okubikkulirwa Chapter 3 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Empya
- Ebikolwa Chapter 4
- Ebikolwa Chapter 3
- Ebikolwa Chapter 13
- Ebikolwa Chapter 8
- Ebikolwa Chapter 11
- Ebikolwa Chapter 2
- Yakobo Chapter 5
Explore More from okubikkulirwa
- Okubikkulirwa Chapter 2
- Okubikkulirwa Chapter 1
- Okubikkulirwa Chapter 7
- Okubikkulirwa Chapter 10
- Okubikkulirwa Chapter 17
- Okubikkulirwa Chapter 4
- Okubikkulirwa Chapter 20