Read Okubikkulirwa Chapter 12 Online
Read Okubikkulirwa Chapter 12 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Okubikkulirwa in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Okubikkulirwa and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Okubikkulirwa 12
Essuula 12
1. N'akabonero akanene ne kalabika mu ggulu, omukazi ng'ayambadde enjuba, n'omwezi nga guli wansi w'ebigere bye, ne ku mutwe gwe nga kuliko engule ey'emmunyeenye kkumi na bbiri;
2. era ng'ali lubuto: n'akaaba ng'alumwa era ng'abalagalwa okuzaala.
3. Ne walabika akabonero akalala mu ggulu; era, laba, ogusota ogumyufu ogunene, ogulina emitwe omusanvu n'amayembe kkumi, ne ku mitwe gyagwo engule musanvu.
4. N'omukira gwagwo ne guwalula ekitundu eky'okusatu eky'emmunyeenye ez'omu ggulu, ne guzisuula ku nsi: ogusota ne guyimirira mu maaso g'omukazi, eyali agenda okuzaala, bw'alizaala, gulyoke guliire ddala omwana we.
5. N'azaala omwana ow'obulenzi, agenda okufuga amawanga gonna n'omuggo ogw'ekyuma: n'omwana we n'akwakulibwa n'atwalibwa eri Katonda, n'eri entebe ye ey'obwakabaka.
6. N'omukazi n'adduka n'atuuka mu ddungu, gye yalina ekifo ekyateekebwateekebwa Katonda, balyoke bamuliisizenga eyo ennaku lukumi mu ebikumi bibiri mu nkaaga.
7. Ne waba olutalo mu ggulu: Mikaeri ne bamalayika be nga batabaala okulwana n'ogusota; ogusota ne gulwana ne bamalayika baagwo;
8. ne batayinza, so ne watalabika kifo kyabwe nate mu ggulu.
9. N'ogusota ogunene ne gusuulibwa, omusota ogw'edda, oguyitibwa Omulyolyomi era Setaani, omulimba w'ensi zonna; ne gusuulibwa ku nsi, ne bamalayika baagwo ne basuulibwa nagwo.
10. Ne mpulira eddoboozi ddene mu ggulu, nga lyogera nti Kaakano obulokozi buzze n'amaanyi n'obwakabaka bwa Katonda waffe, n'obuyinza bwa Kristo we: kubanga aloopa baganda baffe yasuulibwa, abaloopa mu maaso ga Katonda waffe emisana n'ekiro.
11. Nabo baamuwangula olw'omusaayi gw'Omwana gw'endiga, n'olw'ekigambo eky'okutegeeza kwabwe; ne batayagala bulamu bwabwe okutuusa okufa.
12. Kale musanyuke, eggulu n'abatuulamu. Zisanze ensi n'ennyanja: kubanga Omulyolyomi asse gye muli ng'alina obusungu bungi, ng'amanyi ng'alina akaseera katono.
13. Ogusota bwe gwalaba nga gusuuliddwa ku nsi, ne guyigganya omukazi eyazaala omwana ow'obulenzi.
14. Omukazi n'aweebwa ebiwaawaatiro bibiri eby'empungu ennene, alyoke abuuke okutuuka mu ddungu mu kifo kye, gy'aliisizibwa ekiseera n'ebiseera n'ekitundu ky'ekiseera, mu maaso g'omusota.
15. N'omusota ne guwandula okuva mu kamwa kaagwo ennyuma w'omukazi amazzi ng'omugga, gulyoke gumutwaze omugga.
16. Ensi n'eyamba omukazi, ensi n'eyasama akamwa kaayo, n’enywa omugga ogusota gwe gwawandula okuva mu kamwa kaagwo.
17. Ogusota ne gusunguwalira omukazi, ne gugenda okulwana n'ab'omu zzadde lye abaasigalawo abakwata ebiragiro bya Katonda, era abalina okutegeeza kwa Yesu:
About Okubikkulirwa Chapter 12
Read Okubikkulirwa Chapter 12 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Okubikkulirwa in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Okubikkulirwa
Chapter: 12
Testament: New Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Okubikkulirwa. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Okubikkulirwa Chapter 12 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Okubikkulirwa Chapter 12?
Okubikkulirwa Chapter 12 is part of the Book of Okubikkulirwa in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Okubikkulirwa Chapter 12 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Empya
- Ebikolwa Chapter 3
- Ebikolwa Chapter 4
- Ebikolwa Chapter 13
- Ebikolwa Chapter 2
- Ebikolwa Chapter 1
- Ebikolwa Chapter 27
- Ebikolwa Chapter 28
Explore More from okubikkulirwa
- Okubikkulirwa Chapter 2
- Okubikkulirwa Chapter 22
- Okubikkulirwa Chapter 16
- Okubikkulirwa Chapter 5
- Okubikkulirwa Chapter 18
- Okubikkulirwa Chapter 19
- Okubikkulirwa Chapter 4