1 Yokaana Chapter 5

For English

Read 1 Yokaana Chapter 5 Online

Read 1 Yokaana Chapter 5 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 1 Yokaana in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of 1 Yokaana and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

1 Yokaana 5

Essuula 5

1. Buli muntu yenna akkiriza nga Yesu ye Kristo, ng'azaaliddwa Katonda: na buli ayagala eyazaala ayagala n'oyo gwe yazaala.

2. Ku ekyo kwe tutegeerera nga twagala abaana ba Katonda, bwe twagala Katonda ne tukola ebiragiro bye.

3. Kubanga kuno kwe kwagala kwa Katonda ffe okukwatanga ebiragiro bye: era ebiragiro bye tebizitowa.

4. Kubanga buli ekyazaalibwa Katonda kiwangula ensi; era kuno kwe kuwangula okwawangula ensi, okukkiriza kwaffe.

5. Era awangula ensi ye ani, wabula akkiriza nga Yesu ye Mwana wa Katonda?

6. Oyo ye yajja n'amazzi n'omusaayi, Yesu Kristo; si na mazzi gali gokka, naye n'amazzi gali n'omusaayi guli.

7. Era Omwoyo y'ategeeza, kubanga Omwoyo ge mazima.

8. Kubanga abategeeza basatu, Omwoyo n'amazzi n'omusaayi; era abasatu abo bagendera wamu.

9. Bwe tukkiriza okutegeeza kw'abantu, okutegeeza kwa Katonda kwe kusinga obukulu: kubanga okutegeeza kwa Katonda kwe kuno nti ategeezezza eby'Omwana we.

10. Akkiriza Omwana wa Katonda alina okutegeeza mu ye; atakkiriza Katonda ng'amufudde mulimba; kubanga takkiriza kutegeeza Katonda kw'ategeezezza eby'Omwana we.

11. Era okutegeeza kwe kuno nti Katonda yatuwa obulamu obutaggwaawo, era obulamu obwo buli mu Mwana we.

12. Alina Omwana alina obulamu; atalina Mwana wa Katonda talina bulamu.

13. Ebyo mbiwandiikidde mmwe, mumanye nga mulina obulamu obutaggwaawo, mmwe abakkiriza erinnya ly'Omwana wa Katonda.

14. Era buno bwe bugumu bwe tulina eri ye, nti bwe tusaba ekintu nga bw'ayagala, atuwulira:

15. era bwe tumanya ng'atuwulira buli kye tusaba, tumanyi nga tulina ebyo bye tumusabye.

16. Omuntu yenna bw'alabanga muganda we ng'akola ekibi ekitali kya kufa, anaasabanga, ne Katonda anaamuweeranga obulamu abo abakola ekibi ekitali kya kufa. Waliwo ekibi eky'okufa: ekyo si kye njogerako okukyegayiririranga

17. Buli ekitali kya butuukirivu kibi: era waliwo ekibi ekitali kya kufa.

18. Tumanyi nga buli muntu yenna eyazaalibwa Katonda takola kibi; naye eyazaalibwa Katonda amukuuma, omubi n'atamukomako.

19. Tumanyi nga tuli ba Katonda, n'ensi yonna eri mu bubi.

20. Era tumanyi nga Omwana wa Katonda yajja n'atuwa amagezi n'okutegeera tutegeera ow'amazima, era tuli mu oyo ow'amazima, mu Mwana we Yesu Kristo. Oyo ye Katonda ow'amazima, n'obulamu obutaggwaawo.

21. Abaana abato, mwekuumenga ebifaananyi.

About 1 Yokaana Chapter 5

Read 1 Yokaana Chapter 5 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 1 Yokaana in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: 1 Yokaana
Chapter: 5
Testament: New Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading 1 Yokaana. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading 1 Yokaana Chapter 5 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is 1 Yokaana Chapter 5?

1 Yokaana Chapter 5 is part of the Book of 1 Yokaana in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete 1 Yokaana Chapter 5 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from 1-yokaana

  1. 1 Yokaana Chapter 1
  2. 1 Yokaana Chapter 2
  3. 1 Yokaana Chapter 3
  4. 1 Yokaana Chapter 4

Explore More from Endagaano Empya

  1. Lukka Chapter 6
  2. Abakkolosaayi Chapter 4
  3. Yokaana Chapter 13
  4. Yokaana Chapter 20
  5. 2 Timoseewo Chapter 3
  6. Abaggalatiya Chapter 3
  7. Matayo Chapter 14

Related Chapters & Readings

  1. Olubereberye Chapter 6
  2. Abaebbulaniya Chapter 12
  3. Ezera Chapter 9
  4. Omubuulizi Chapter 9
  5. Nekkemiya Chapter 2
  6. Okubikkulirwa Chapter 20
  7. Ebyabaleevi Chapter 7
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *