Read Tito Chapter 3 Online
Read Tito Chapter 3 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Tito in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Tito and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Tito 3
Essuula 3
1. Obajjukizenga okugonderanga abafuga n'abalina obuyinza, okuwuliranga, okweteekerateekeranga buli kikolwa kyonna ekirungi,
2. obutavumanga muntu yenna, obutalwananga, okwewombeekanga, nga balaga obukkakkamu bwonna eri abantu bonna.
3. Kubanga era naffe edda twali basirusiru, abatawulira, abalimbibwa, nga tuweereza okwegomba n'ebinyumu ebitali bimu, nga tubeera mu ttima n'obuggya, abeekyayisa, era nga tukyawagana.
4. Naye obulungi bw'Omulokozi waffe Katonda n'okwagala kwe eri abantu bwe byalabika,
5. n'atulokola, si lwa bikolwa eby'omu butuukirivu bye twakola ffe wabula olw'okusaasira kwe, olw'okunaazibwa okw'okuzaalibwa omulundi ogw'okubiri n'okufuulibwa abaggya Omwoyo Omutukuvu,
6. gwe yatufukako olw'obugagga, ku bwa Yesu Kristo Omulokozi waffe;
7. nga tumaze okuweebwa obutuukirivu olw'ekisa kye oyo, tulyoke tufuuke abasika mu kusuubira obulamu obutaggwaawo.
8. Ekigambo kino kyesigwa, ne ku bino njagala ggwe okukakasizanga ddala, abakkiriza Katonda bajjukirenga okussaako omwoyo ku bikolwa ebirungi. Ebyo birungi, era bigasa abantu:
9. naye empaka ez'obusiru n'ebitabo ebirimu endyo z'okuzaalibwa n'ennyombo n'okuwakanira amateeka obyewalenga; kubanga tebiriiko kye bigasa so tebiriimu.
10. Omuntu omukyamu, bw'omalanga okumubuulirira omulundi ogw'olubereberye n'ogw'okubiri, omugaananga,
11. ng'omanya ng'ali ng'oyo akyamizibwa, era ayonoona, nga yeesalira yekka omusango.
12. Bwe ntumanga Atema gy'oli oba Tukiko, fuba okujja gye ndi mu Nikopoli: kubanga nteesezza okumalira eyo ebiro eby'empewo.
13. Fuba okubasibirira Zeena ow'amateeka ne Apolo, baleme okubulwa ekintu.
14. Era abaffe bayige okussangako omwoyo ku bikolwa ebirungi mu bigambo ebyetaagibwa, balemenga obutabala.
15. Abali nange bonna bakulamusizza. Olamuse abatwagala mu kukkiriza. Ekisa kibeerenga nammwe mwenna.
About Tito Chapter 3
Read Tito Chapter 3 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Tito in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Tito
Chapter: 3
Testament: New Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Tito. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Tito Chapter 3 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Tito Chapter 3?
Tito Chapter 3 is part of the Book of Tito in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Tito Chapter 3 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Empya
- Ebikolwa Chapter 3
- Ebikolwa Chapter 4
- Ebikolwa Chapter 13
- Ebikolwa Chapter 2
- Ebikolwa Chapter 1
- Ebikolwa Chapter 27
- Ebikolwa Chapter 28