Ebikolwa Chapter 1

For English

Read Ebikolwa Chapter 1 Online

Read Ebikolwa Chapter 1 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ebikolwa in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Ebikolwa and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Ebikolwa 1

Essuula 1

1. Ekitabo eky'olubereberye nnakikola, munnange Teefiro, ekya byonna Yesu bye yasooka okukola n'okuyigiriza,

2. okutuusa ku lunaku luli bwe yamala okulagira ku bw'Omwoyo Omutukuvu abatume be yalonda n'atwalibwa mu ggulu.

3. Bwe yamala okubonyaabonyezebwa ne yeeraga mu bo nga mulamu, mu bubonero bungi, ng'abalabikira ebbanga ly'ennaku amakumi ana, ng'ayogera eby'obwakabaka bwa Katonda.

4. Awo bwe yakuŋŋaana nabo n'abalagira baleme okuva mu Yerusaalemi, naye balindirire okusuubiza kwa Kitaawe kwe baawulira gy'ali:

5. kubanga Yokaana yabatiza n'amazzi; naye mmwe mulibatizibwa n'Omwoyo Omutukuvu mu nnaku si nnyingi.

6. Awo bwe baakuŋŋaana ne bamubuuza nga bagamba nti Mukama waffe, mu biro bino mw'onookomezaawo obwakabaka eri Isiraeri?

7. N'abagamba nti Si kwammwe okumanya entuuko newakubadde ebiro, Kitaffe bye yateeka mu buyinza bwe ye.

8. Naye muliweebwa amaanyi, Omwoyo Omutukuvu bw'alimala okujja ku mmwe, nammwe munaabanga bajulirwa bange mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya bwonna ne mu Samaliya, n'okutuusa ku nkomerero y'ensi.

9. Bwe yamala okwogera ebyo, nga batunuulira, n'asitulibwa, ekire ne kimutoola okumuggya mu maaso gaabwe.

10. Bwe baali beekaliriza amaaso mu ggulu bw'agenda, laba, abantu babiri ne bayimirira kumpi nabo nga bambadde engoye ezitukula;

11. abaayogera nti Abantu b’e Ggaliraaya kiki ekibayimiriza nga mutunuulira mu ggulu? Oyo Yesu abaggiddwako okutwalibwa mu ggulu alijja bw'atyo nga bwe mumulabye ng'agenda mu ggulu.

12. Ne bakomawo e Yerusaalemi okuva ku lusozi oluyitibwa olwa Zeyituuni, oluli okumpi ne Yerusaalemi ng'olugendo olw'oku ssabbiiti.

13. Awo bwe baayingira ne balinnya mu kisenge ekya waggulu, we baatuulanga; Peetero ne Yokaana ne Yakobo ne Andereya, Firipo ne Tomasi, Battolomaayo ne Matayo, Yakobo omwana wa Alufaayo, ne Simooni Zerote, ne Yuda omwana wa Yakobo.

14. Abo bonna baali nga banyiikira n'omwoyo gumu mu kusaba, wamu n'abakazi ne Malyamu nnyina Yesu, ne baganda be.

15. Mu nnaku ezo Peetero n'ayimirira wakati mu b'oluganda n’ayogera (ekibiina ky'abantu abaakuŋŋaana baali nga kikumi mu abiri) nti

16. Abasajja ab'oluganda, kyagwana ekyawandiikibwa kituukiririzibwe, Omwoyo Omutukuvu kye yayogera edda mu kamwa ka Dawudi, ku Yuda, eyali omusaale waabwe abaakwata Yesu;

17. kubanga yabalirwa wamu naffe, n'aweebwa omugabo gw'okuweereza kuno.

18. (Oyo n'agula ennimiro n'empeera ey'obubi bwe; n'agwa nga yeevuunise, n'ayabikamu wakati, ebyenda byonna ne biyiika.

19. Ne kitegeerekeka eri abo bonna abaali mu Yerusaalemi: ennimiro eyo mu lulimi lwabwe n'okuyitibwa n'eyitibwa Akerudama, ye nnimiro ey'omusaayi.)

20. Kubanga kyawandiikibwa mu kitabo kya Zabbuli nti Ekibanja kye kizike, So kireme okubeerangamu omuntu: era nti Obukulu bwe buweebwe omulala.

21. Kale kigwanye mu bantu abaayitanga naffe mu biro byonna bwe yayingiranga n'avanga gye tuli Mukama waffe Yesu

22. okuva ku kubatiza kwa Yokaana okutuusa ku lunaku lwe yatuggibwako, omu ku abo abeere omujulirwa w'okuzuukira kwe awamu naffe.

23. Ne balonda babiri, Yusufu ayitibwa Balusaba, n'atuumibwa nate erinnya Yusito, ne Matiya.

24. Ne basaba, ne bagamba nti Ggwe, Mukama waffe, amanyi emitima gy'abantu bonna, lagako omu gw'olonze ku bano bombi,

25. aweebwe ekifo ky'okuweereza okwo n'obutume, Yuda bwe yasubwa agende mu kifo kye ye.

26. Ne babakubira obululu; akalulu ne kagwa ku Matiya; n’abalirwa wamu n'abatume ekkumi n'omu.

About Ebikolwa Chapter 1

Read Ebikolwa Chapter 1 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ebikolwa in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Ebikolwa
Chapter: 1
Testament: New Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Ebikolwa. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Ebikolwa Chapter 1 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Ebikolwa Chapter 1?

Ebikolwa Chapter 1 is part of the Book of Ebikolwa in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Ebikolwa Chapter 1 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from ebikolwa

  1. Ebikolwa Chapter 4
  2. Ebikolwa Chapter 3
  3. Ebikolwa Chapter 13
  4. Ebikolwa Chapter 11
  5. Ebikolwa Chapter 27
  6. Ebikolwa Chapter 8
  7. Ebikolwa Chapter 2

Explore More from Endagaano Empya

  1. Makko Chapter 11
  2. 1 Abakkolinso Chapter 4
  3. 2 Peetero Chapter 1
  4. 1 Abakkolinso Chapter 8
  5. Lukka Chapter 22
  6. Ebikolwa Chapter 8
  7. Yakobo Chapter 2

Related Chapters & Readings

  1. Zabbuli Chapter 142
  2. Abaruumi Chapter 1
  3. 1 Ebyomumirembe Chapter 8
  4. Nekkemiya Chapter 12
  5. 2 Ebyomumirembe Chapter 34
  6. 1 Bassekabaka Chapter 1
  7. Ekyabalamuzi Chapter 2
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *