Read Yona Chapter 4 Online
Read Yona Chapter 4 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yona in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Yona and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Yona 4
Essuula 4
1. Naye Yona n'atasiima n'akatono n'anyiikaala.
2. N'asaba Mukama n'ayogera nti Nkusaba, ai Mukama, saayogera bwe ntyo nga nkyali mu nsi y'ewaffe. Kyennava nnyanguwa okuddukira e Talusiisi; kubanga nategeera nti oli Katonda mulungi ajjudde okusaasira alwawo okusunguwala, alina ekisa ekingi, era ataleeta bubi.
3. Kale nno, ai Mukama, nkwegayiridde, onziyeko obulamu bwange; kubanga waakiri nfe okusinga okuba omulamu.
4. Mukama n'ayogera nti Ggwe okoze bulungi okusunguwala?
5. Awo Yona n'afuluma mu kibuga n'atuula ku luuyi olw'ekibuga olwolekedde ebuvanjuba n'asiisira eyo ekisiisira n'atuula omwo mu kisiikirize kyakyo okutuusa lw'aliraba ekibuga bwe kiriba.
6. Mukama Katonda n'ategeka ekiryo n'akimeza awali Yona kimusiikirize ku mutwe gwe, kimuwonye ennaku ze yali alabye. Awo Yona n'asanyuka nnyo olw'ekiryo.
7. Naye Katonda n'ategeka ekiwuka obudde bwe bwakya enkya, ne kiruma ekiryo ne kiwotoka.
8. Awo olwatuuka enjuba bwe yavaayo, Katonda n'ategeka embuyaga ez'obuvanjuba ez'olubugumu, omusana ne gwokya Yona mu mutwe gwe, n'azirika n'asaba afe, n'ayogera nti Waakiri nfe okusinga okuba omulamu.
9. Katonda n'agamba Yona nti Ggwe okoze bulungi okusunguwala ku lw'ekiryo? N'ayogera nti Nkoze bulungi okusunguwala okutuusa lwe ndifa.
10. Mukama n'ayogera nti Osaasidde ekiryo kyotaakolera mulimu so ky'otaameza; ekyamerera ekiro ekimu, ne kibulira ekiro ekimu;
11. nange sandisaasidde Nineeve, ekibuga ekyo ekinene; omuli abantu akasiriivu mu obukumi obubiri n'okusukkirirawo abatayinza kwawula mukono gwabwe ogwa ddyo n'omukono gwabwe ogwa kkono; era n'ensolo ennyingi?
About Yona Chapter 4
Read Yona Chapter 4 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yona in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Yona
Chapter: 4
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Yona. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Yona Chapter 4 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Yona Chapter 4?
Yona Chapter 4 is part of the Book of Yona in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Yona Chapter 4 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 16
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 28
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 19