Read Abaebbulaniya Chapter 4 Online
Read Abaebbulaniya Chapter 4 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Abaebbulaniya in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Abaebbulaniya and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Abaebbulaniya 4
Essuula 4
1. Kale tutyenga nti okusuubiza okw'okuyingira mu kiwummulo nga bwe kukyatulekeddwa, omuntu yenna ku mmwe aleme kulabika nga takutuuseeko.
2. Kubanga naffe twabuulirwa enjiri, era nga bo: naye ekigambo eky'okuwulira tekyabagasa bo, kubanga tebaagattibwa mu kukkiriza wamu n'abo abaawulira.
3. Kubanga ffe abaamala okukkiriza tuyingira mu kiwummulo ekyo; nga bwe yayogera nti Nga bwe nnalayirira mu busungu bwange, Nti Tebaliyingira mu kiwummulo kyange: newakubadde ng'emirimu gyaggwa okuva mu kutondebwa kw'ensi.
4. Kubanga waliwo w'ayogerera ku lunaku olw'omusanvu bw'ati, nti Katonda n'awummulira ku lunaku olw'omusanvu mu mirimu gye gyonna;
5. era nate ne mu kino nti Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.
6. Kale kubanga kisigaddeyo abalala okukiyingiramu, n'abo abaasooka okubuulirwa, enjiri ne batayingira olw'obutagonda,
7. nate ayawula olunaku gundi, ng'ayogerera mu Dawudi oluvannyuma lw'ebiro ebingi bwe biti, nti Leero, nga bwe kyogeddwa olubereberye, Leero bwe munaawulira eddoboozi lye, Temukakanyaza mitima gyammwe.
8. Kuba singa Yoswa yabawummuza, teyandyogedde ku lunaku lulala oluvannyuma lw'ebyo.
9. Kale wasigaddeyo ekiwummulo kya ssabbiiti eri abantu ba Katonda.
10. Kubanga ayingidde mu kiwummulo kye, era naye ng'awummudde mu mirimu gye, nga Katonda bwe yawummula mu gigye.
11. Kale tufubenga okuyingira mu kiwummulo ekyo, omuntu yenna aleme okugwa mu ngeri eyo ey'obutagonda.
12. Kubanga ekigambo kya Katonda kiramu, era kikozi, era kisala okusinga buli kitala kyonna eky'obwogi obubiri, era kiyitamu n'okwawula ne kyawula obulamu n'omwoyo, ennyingo n'obusomyo, era kyangu okwawula okulowooza n'okufumiitiriza okw'omu mutima.
13. So siwali kitonde ekitalabika mu maaso ge: naye ebintu byonna byeruliddwa era bibikkuliddwa mu maaso g'oyo gwe tuleetera ebigambo byaffe.
14. Kale bwe tulina kabona asinga obukulu omunene, eyayita mu ggulu, Yesu Omwana wa Katonda, tunywezenga okwatula kwaffe.
15. Kubanga tetulina kabona asinga obukulu atayinza kulumirwa wamu naffe mu bunafu bwaffe; naye eyakemebwa mu byonna bumu nga ffe, so nga ye talina kibi.
16. Kale tusemberenga n'obuvumu eri entebe ey'ekisa, tulyoke tuweebwe okusaasirwa, era tufune ekisa olw'okubeerwa bwe tukwetaaga.
About Abaebbulaniya Chapter 4
Read Abaebbulaniya Chapter 4 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Abaebbulaniya in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Abaebbulaniya
Chapter: 4
Testament: New Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Abaebbulaniya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Abaebbulaniya Chapter 4 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Abaebbulaniya Chapter 4?
Abaebbulaniya Chapter 4 is part of the Book of Abaebbulaniya in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Abaebbulaniya Chapter 4 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from abaebbulaniya
- Abaebbulaniya Chapter 3
- Abaebbulaniya Chapter 2
- Abaebbulaniya Chapter 6
- Abaebbulaniya Chapter 5
- Abaebbulaniya Chapter 13
- Abaebbulaniya Chapter 12
- Abaebbulaniya Chapter 10
Explore More from Endagaano Empya
- 2 Abakkolinso Chapter 9
- Yokaana Chapter 14
- Makko Chapter 4
- Makko Chapter 15
- 3 Yokaana Chapter 1
- Abakkolosaayi Chapter 2
- 2 Abakkolinso Chapter 4