Read Okubikkulirwa Chapter 17 Online
Read Okubikkulirwa Chapter 17 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Okubikkulirwa in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Okubikkulirwa and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Okubikkulirwa 17
Essuula 17
1. Ne wajja omu ku bamalayika omusanvu abaalina ebibya omusanvu, n'ayogera nange, ng'agamba nti Jjangu wano, nange nnaakulaga omusango gw'omwenzi omukulu atuula ku mazzi amangi;
2. bakabaka b'ensi gwe baayenda naye, n'abo abatuula ku nsi ne batamiira omwenge gw'obwenzi bwe.
3. N'antwala mu ddungu mu Mwoyo: ne ndaba omukazi, ng'atudde ku nsolo emmyuufu, ng'ejjudde amannya ag'obuvvoozi, ng'erina emitwe musanvu n'amayembe kkumi.
4. Omukazi ng'ayambadde olugoye olw'effulungu n'olumyufu, era n'ayonjebwa ne zaabu n'amayinja ag'omuwendo omungi ne luulu, ng'alina mu mukono gwe ekikompe ekya zaabu ekijjudde emizizo, ye mpitambi ey'obwenzi bwe,
5. ne ku kyenyi kye erinnya eriwandiikiddwa nti EKYAMA, BABULOONI EKINENE, NNYINA W'ABENZI ERA OW'EMIZIZO GY'ENSI.
6. Ne ndaba omukazi oyo ng'atamidde omusaayi gw'abatukuvu, n'omusaayi gw'abajulirwa ba Yesu. Bwe nnamulaba, ne nneewuunya okwewuunya kunene.
7. Malayika n'aŋŋamba nti Kiki ekikwewuunyisa? Nze nnaakubuulira ekyama ky'omukazi, n'eky'ensolo emusitudde, erina emitwe omusanvu n'amayembe ekkumi.
8. Ensolo gye walabye yaliwo era nga tekyaliwo era egenda okuva mu bunnya obutakoma n'okugenda mu kubula. N'abo abatuula ku nsi balyewuunya, abataawandiikibwa linnya lyabwe mu kitabo ky'obulamu kasookedde ensi eteekebwawo, bwe baliraba ensolo nga yaliwo era nga tekyaliwo ate erijja.
9. Awo we wali omwoyo ogulina amagezi. Emitwe omusanvu ze nsozi omusanvu, omukazi z'atuddeko;
10. era be bakabaka omusanvu; abataano baagwa, omu w'ali, omulala tannaba kujja; era bw'alijja, kimugwanira okumalawo ebiro bitono.
11. N'ensolo eyaliwo era teriiwo, oyo naye ye w'omunaana, naye ye w'oku musanvu, era agenda kubula.
12. N'amayembe ekkumi ge walabye be bakabaka ekkumi, abatannaba kuweebwa bwakabaka; naye baaweebwa obuyinza nga bakabaka, awamu n'ensolo, okumala essaawa emu.
13. Abo balina okuteesa kumu, ne bawa ensolo amaanyi gaabwe n'obuyinza.
14. Abo balirwana n'Omwana gw'endiga, n'Omwana gw'endiga alibawangula, kubanga ye Mukama w'abaami, era ye Kabaka wa bakabaka; era n'abo abali awamu naye, abayitibwa, abalonde, abeesigwa.
15. N'aŋŋamba nti Amazzi ge walabye, omwenzi w'atudde, be bantu n'ebibiina n'amawanga n'ennimi.
16. N'amayembe ekkumi ge walabye, n'ensolo, bano balikyawa omwenzi, balimulekesaawo, balimufuula omwereere, balirya ennyama ye, era balimwokera ddala omuliro.
17. Kubanga Katonda yassa mu mitima gyabwe okukola kye yateesa, n'okuteesa awamu, n'okuwa ensolo obwakabaka bwabwe, okutuusa ebigambo bya Katonda lwe birituukirira.
18. N'omukazi gwe walabye kye kibuga ekinene, ekirina obwakabaka ku bakabaka b'ensi.
About Okubikkulirwa Chapter 17
Read Okubikkulirwa Chapter 17 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Okubikkulirwa in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Okubikkulirwa
Chapter: 17
Testament: New Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Okubikkulirwa. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Okubikkulirwa Chapter 17 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Okubikkulirwa Chapter 17?
Okubikkulirwa Chapter 17 is part of the Book of Okubikkulirwa in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Okubikkulirwa Chapter 17 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Empya
- Ebikolwa Chapter 13
- Ebikolwa Chapter 4
- Ebikolwa Chapter 3
- Ebikolwa Chapter 8
- Ebikolwa Chapter 27
- Ebikolwa Chapter 11
- Yakobo Chapter 5
Explore More from okubikkulirwa
- Okubikkulirwa Chapter 20
- Okubikkulirwa Chapter 22
- Okubikkulirwa Chapter 19
- Okubikkulirwa Chapter 9
- Okubikkulirwa Chapter 16
- Okubikkulirwa Chapter 15
- Okubikkulirwa Chapter 10