Read Okubikkulirwa Chapter 13 Online
Read Okubikkulirwa Chapter 13 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Okubikkulirwa in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Okubikkulirwa and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Okubikkulirwa 13
Essuula 13
1. ne guyimirira ku musenyu gw'ennyanja. Ne ndaba ensolo ng'eva mu nnyanja, erina amayembe kkumi n'emitwe musanvu, ne ku mayembe gaayo nga kuliko engule kkumi, ne ku mitwe gyayo amannya ag'obuvvoozi.
2. N'ensolo gye nnalaba yali efaanana ng'engo, n'ebigere byayo ng'ebya ddubu, n'akamwa kaayo ng'akamwa k'empologoma: n'ogusota gwe gwagiwa amaanyi gaayo, n'entebe yaayo ey'obwakabaka, n'obuyinza obungi.
3. Ne ndaba omutwe gumu ku mitwe gyayo nga gufumitiddwa okufa; n'ekiwundu eky'okufa ne kiwona: n'ensi zonna ne zigoberera ensolo eyo nga zeewuunya;
4. ne basinza ogusota, kubanga gwawa ensolo obuyinza bwayo, ne basinza ensolo, nga boogera nti Ani afaanana ng'ensolo? era ani ayinza okulwana nayo?
5. n'eweebwa akamwa akoogera ebikulu n'obuvvoozi; n'eweebwa obuyinza okumala emyezi amakumi ana mu ebiri.
6. N'eyasamya akamwa kaayo okuvvoola Katonda, okuvvoola erinnya lye, n'eweema ye, n'abatuula mu ggulu.
7. N'eweebwa okulwana n'abatukuvu, n'okubawangula: n'eweebwa obuyinza ku buli kika n'abantu n'olulimi n'eggwanga.
8. Era bonna abatuula mu nsi baligisinza, buli atawandiikiddwa linnya lye mu kitabo ky'obulamu eky'Omwana gw'endiga eyattibwa okuva ku kutondebwa kw'ensi.
9. Omuntu yenna bw'aba n'okutu awulire.
10. Omuntu yenna bw'ayagala okunyaga, anyagibwa: omuntu yenna bw'atta n'ekitala, kimugwanira naye okuttibwa n'ekitala. Awo we wali okugumiikiriza n'okukkiriza kw'abatukuvu.
11. Ne ndaba ensolo endala ng'eva mu nsi; era yalina amayembe abiri agafaanana ng'ag'omwana gw'endiga, n'eyogera ng'ogusota.
12. N'ekoza obuyinza bwonna obw'ensolo ey'olubereberye mu maaso gaayo. N'esinzisa ensi n'abatuulamu ensolo ey'olubereberye, eyawona ekiwundu eky'okufa.
13. N'ekola obubonero bunene, era okussa omuliro okuva mu ggulu ku nsi mu maaso g'abantu.
14. N'erimba abatuula ku nsi olw'obubonero bwe yaweebwa okukola mu maaso g'ensolo; ng'egamba abatuula ku nsi, okukolera ensolo ekifaananyi, erina ekiwundu eky'ekitala n'eba nnamu.
15. N'eweebwa okuwa ekifaananyi eky'ensolo okussa omukka, ekifaananyi eky'ensolo kiryoke kyogere, era kisse bonna abatasinza kifaananyi kya nsolo.
16. N'ewaliriza bonna, abato n'abakulu, n'abagagga n'abaavu, n'ab'eddembe n'abaddu okuweebwa enkovu ku mukono gwabwe ogwa ddyo oba ku byenyi byabwe;
17. era omuntu yenna aleme okuyinza okugula newakubadde okutunda, wabula oyo amaze okuteekebwako akabonero, erinnya ly'ensolo oba omuwendo gw'erinnya lyayo.
18. Awo we wali amagezi. Alina okutegeera abalirire omuwendo gw'ensolo; kubanga gwe muwendo gw'omuntu: n'omuwendo gwayo Lukaaga mu nkaaga mu mukaaga.
About Okubikkulirwa Chapter 13
Read Okubikkulirwa Chapter 13 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Okubikkulirwa in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Okubikkulirwa
Chapter: 13
Testament: New Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Okubikkulirwa. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Okubikkulirwa Chapter 13 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Okubikkulirwa Chapter 13?
Okubikkulirwa Chapter 13 is part of the Book of Okubikkulirwa in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Okubikkulirwa Chapter 13 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Empya
- Ebikolwa Chapter 4
- Ebikolwa Chapter 3
- Ebikolwa Chapter 13
- Ebikolwa Chapter 8
- Ebikolwa Chapter 11
- Ebikolwa Chapter 2
- Yakobo Chapter 5
Explore More from okubikkulirwa
- Okubikkulirwa Chapter 20
- Okubikkulirwa Chapter 5
- Okubikkulirwa Chapter 2
- Okubikkulirwa Chapter 4
- Okubikkulirwa Chapter 7
- Okubikkulirwa Chapter 21
- Okubikkulirwa Chapter 8