1 Yokaana Chapter 2

For English

Read 1 Yokaana Chapter 2 Online

Read 1 Yokaana Chapter 2 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 1 Yokaana in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of 1 Yokaana and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

1 Yokaana 2

Essuula 2

1. Baana bange abato, mbawandiikidde ebyo mulemenga okukola ekibi. Era omuntu yenna bw'akola ekibi, tulina Omuwolereza eri Kitaffe, Yesu Kristo omutuukirivu:

2. n'oyo gwe mutango olw'ebibi byaffe; so si lwa bibi byaffe fekka, era naye n'olw'ensi zonna.

3. Era ku kino kwe tutegeerera nga tumutegedde, bwe tukwata ebiragiro bye.

4. Ayogera nti Mmutegedde, n'atakwata biragiro bye, ye mulimba, n'amazima tegali mu oyo;

5. naye buli akwata ekigambo kye, mazima okwagala kwa Katonda nga kumaze okutuukirizibwa mu oyo. Ku kino kwe tutegeerera nga tuli mu ye:

6. ayogera ng'abeera mu ye kimugwanira naye yennyini okutambulanga era nga ye bwe yatambula.

7. Abaagalwa, sibawandiikira kiragiro kiggya, wabula ekiragiro eky'edda, kye mwalina okuva ku lubereberye; ekiragiro ekyo eky'edda kye kigambo kye mwawulira.

8. Nate mbawandiikira ekiragiro ekiggya, ekigambo eky'amazima mu ye ne mu mmwe; kubanga ekizikiza kiggwaawo, n'omusana ogw'amazima kaakano gwaka.

9. Ayogera ng'ali mu musana n'akyawa muganda we, ng'akyali mu kizikiza ne kaakano.

10. Ayagala muganda we abeera mu musana, era tewali kimwesittaza.

11. Naye akyawa muganda we ali mu kizikiza, era atambulira mu kizikiza, so nga tamanyi gy'agenda, kubanga ekizikiza kyamuziba amaaso.

12. Mbawandiikira mmwe, abaana abato, kubanga ebibi byammwe bibasonyiyiddwa olw'erinnya lye.

13. Mbawandiikira mmwe, abakadde, kubanga mutegedde oyo eyabaawo okuva ku lubereberye. Mbawandiikira mmwe, abavubuka, kubanga muwangudde omubi. Mbawandiikidde mmwe, abaana abato, kubanga mutegedde Kitaffe.

14. Mbawandiikidde mmwe, abakadde, kubanga mutegedde oyo eyabaawo okuva ku lubereberye. Mbawandiikidde mmwe, abavubuka, kubanga mulina amaanyi, n'ekigambo kya Katonda kibeera mu mmwe, era muwangudde omubi.

15. Temwagalanga nsi newakubadde ebiri mu nsi. Omuntu yenna bw'ayagala ensi, okwagala kwa Kitaffe tekuba mu ye.

16. Kubanga buli ekiri mu nsi, okwegomba kw'omubiri, n'okwegomba kw'amaaso, n'okwegulumiza kw'obulamu okutaliimu, tebiva eri Kitaffe, naye biva eri ensi.

17. Era ensi eggwaawo, n'okwegomba kwayo; naye akola Katonda by'ayagala abeerera emirembe egitaggwaawo.

18. Abaana abato, kye kiseera eky'enkomerero, era nga bwe mwawulira ng'omulabe wa Kristo ajja, ne kaakano waliwo abalabe ba Kristo bangi; kyetuva tutegeera nga kye kiseera eky'enkomerero.

19. Baava mu ffe, naye tebaali b'ewaffe; kuba singa baali b'ewaffe, bandibadde wamu naffe; naye baatuvaamu era balabisibwe bonna nga si b'ewaffe.

20. Nammwe mufukibwako amafuta eri Omutuknvu, era mumanyi byonna.

21. Sibawandiikidde kubanga temumanyi mazima, naye kubanga mugamanyi, era kubanga tewali bulimba obuva mu mazima.

22. Omulimba ye ani wabula oyo agaana nga Yesu si ye Kristo? Oyo ye mulabe wa Kristo, agaana Kitaffe n'Omwana.

23. Buli muntu yenna agaana Omwana, ne Kitaffe nga tali naye; ayatula Omwana, ne Kitaffe ali naye.

24. Mmwe kye mwawulira okuva ku lubereberye kibeerenga mu mmwe. Kye mwawulira okuva ku lubereberye bwe kinaabeeranga mu mmwe, nammwe munaabeeranga mu Mwana ne mu Kitaffe.

25. Na kuno kwe kusuubiza kwe yatusuubiza, obulamu obutaggwaawo.

26. Ebyo mbawandiikidde olw'ebigambo by'abo abakyamya.

27. Nammwe okufukibwako amafuta kwe mwaweebwa ye kubeera mu mmwe, so temwetaaga muntu yenna okubayigirizanga; naye ng'okufuka kwe okw'amafuta bwe kubayigiriza mu bigambo byonna, era kwa mazima so si bulimba, era nga bwe kwabayigiriza, mubeerenga mu ye.

28. Ne kaakano, abaana abato, mubeerenga mu ye; bw'alirabisibwa tulyoke tubeere n'obugumu, era ensonyi zireme okutukwatira mu maaso ge mu kujja kwe.

29. Oba nga mumanyi nga mutuukirivu, era mutegeera nga buli muntu yenna akola obutuukirivu yazaalibwa ye.

About 1 Yokaana Chapter 2

Read 1 Yokaana Chapter 2 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 1 Yokaana in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: 1 Yokaana
Chapter: 2
Testament: New Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading 1 Yokaana. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading 1 Yokaana Chapter 2 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is 1 Yokaana Chapter 2?

1 Yokaana Chapter 2 is part of the Book of 1 Yokaana in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete 1 Yokaana Chapter 2 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from 1-yokaana

  1. 1 Yokaana Chapter 1
  2. 1 Yokaana Chapter 3
  3. 1 Yokaana Chapter 4
  4. 1 Yokaana Chapter 5

Explore More from Endagaano Empya

  1. Yokaana Chapter 16
  2. 1 Yokaana Chapter 3
  3. Ebikolwa Chapter 4
  4. Yakobo Chapter 4
  5. Lukka Chapter 17
  6. Ebikolwa Chapter 21
  7. Lukka Chapter 12

Related Chapters & Readings

  1. 2 Samwiri Chapter 3
  2. Makko Chapter 13
  3. 1 Bassekabaka Chapter 15
  4. 2 Ebyomumirembe Chapter 29
  5. Oluyimba lwa Sulemaani Chapter 8
  6. Zekkaliya Chapter 8
  7. 2 Bassekabaka Chapter 4
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *