Ebikolwa Chapter 20

For English

Read Ebikolwa Chapter 20 Online

Read Ebikolwa Chapter 20 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ebikolwa in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Ebikolwa and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Ebikolwa 20

Essuula 20

1. Akacwano bwe kamala okukkakkana, Pawulo n'ayita abayigirizwa n'ababuulirira n'abasiibula, n'avaayo okugenda e Makedoni.

2. Bwe yayita mu njuyi ziri n'abategeeza ebigambo bingi, n'atuuka e Buyonaani.

3. Bwe yamalayo emyezi esatu, era Abayudaaya bwe baamusalira olukwe, bwe yali ng'agenda okuyita mu nnyanja okutuuka e Busuuli, nalowooza okuddayo mu Makedoni.

4. Ne bagenda naye okutuuka mu Asiya Sopateri Omuberoya mutabani wa Puulo; n'Abasessaloniika Alisutaluuko ne Sekundo; ne Gayo Omuderube ne Timoseewo; n'AbasiyaTukiko ne Tulofiimo.

5. Bano ne bakulembera ne batulindirira mu Tulowa.

6. Ffe ne tuva mu Firipi ne tuwanika amatanga oluvannyuma lw'ennaku ez'emigaati egitazimbulukuswa, ne tubatuukako mu Tulowa mu nnaku ttaano; gye twamala ennaku omusanvu.

7. Awo ku lunaku olw'olubereberye mu ssabbiiti, bwe twakuŋŋaana okumenya emigaati, Pawulo n'anyumya nabo, ng'ayagala okusitula enkya, n'alwawo mu kwogera okutuusa ettumbi.

8. Ne wabaawo ettabaaza nnyingi mu kisenge ekya waggulu, mwe twakuŋŋaanira.

9. Omulenzi erinnya lye Yutuko n'atuula mu ddirisa, n'akwatibwa otulo tungi; awo Pawulo bwe yalwawo ng'akyanyumya, ng'akwatiddwa otulo tungi n'ava mu nju ey'okusatu, n'agwa, n'alondebwa ng'afudde.

10. Pawulo n'akka n'amugwako n'amuwambaatira n'agamba nti Temukuba biwoobe; obulamu bwe mwebuli munda.

11. N'alinnya n'amenya omugaati n'alyako n'alwawo ng'akyanyumya okutuusa enkya, n'alyoka avaayo.

12. Ne baleeta omulenzi nga mulamu, ne basanyuka si katono.

13. Naye ffe ne tukulembera okutuuka ku kyombo ne tugenda okutuuka e Aso, nga twagala eyo okusiika Pawulo: kubanga yali alagidde bw'atyo, ng'ayagala ye yennyini okuyita ku lukalu.

14. Bwe yatusanga mu Aso ne tumusiika, ne tuja e Mituleene.

15. Ne tuwanika amatanga okuvaayo ku lunaku olw'okubiri ne tutuuka mu maaso ga Kiyo; ku Iw'okusatu ne tugoba ku Samo; ku lw'okuna ne tutuuka mu Mireeto.

16. Kubanga Pawulo yasiima okuyitira mu Efeso mu kyombo, aleme okulwa mu Asiya; kubanga yali ayanguwa, oba nga kiyinzika okubeera mu Yerusaalemi ku lunaku lwa Pentekoote.

17. Bwe yali mu Mireeto n'atuma, mu Efeso n'ayita abakadde b'ekkanisa.

18. Bwe baatuuka gy'ali n'abagamba nti Mmwe mumanyi okuva ku lunaku olw'olubereberye bwe nnalinnya mu Asiya, bwe nnabanga nammwe mu biro byonna,

19. nga mpeereza Mukama waffe n'obuwombeefu bwonna n'amaziga n'okukemebwa kwe nnalaba mu nkwe z'Abayudaaya:

20. bwe sseekekanga kubabuulira kigambo kyonna ekisaana, n'okubayigiririzanga mu maaso g'abantu ne mu buli nju,

21. nga ntegeeza Abayudaaya era n'Abayonaani okwenenya eri Katonda n'okukkiriza Mukama waffe Yesu Kristo.

22. Kaakano, laba, bwe nsibiddwa mu mwoyo, ŋŋenda e Yerusaalemi nga simanyi bye ndiraba eyo,

23. wabula nga Omwoyo Omutukuvu antegeeza mu buli kibuga; ng'agamba nti okusibibwa n'okubonyaabonyezebwa binnindiridde.

24. Naye obulamu bwange sibulowooza nga kintu, nga bwa muwendo gye ndi, ndyoke ntuukirize olugendo lwange n'okuweereza kwe nnaweebwa Mukama waffe Yesu, okutegeezanga enjiri ey'ekisa kya Katonda.

25. Kaakano, laba, nze mmanyi nga temukyandaba maaso gange mmwe mwenna be nnayitangamu nga mbuulira obwakabaka.

26. Kyenva mbategeeza leero nti nze ndi mulongoofu olw'omusaayi gwa bonna,

27. kubanga sseekekanga kubabuulira kuteesa kwa Katonda kwonna.

28. Mwekuumenga mmwe mwekka n'ekisibo kyonna Omwoyo Omutukuvu mwe yabateeka mmwe okuba abalabirizi, okulundanga ekkanisa ya Katonda gye yeegulira n'omusaayi gwe yennyini.

29. Nze mmanyi nga bwe ndimala okuvaawo emisege emikambwe giriyingira mu mmwe, tegirisaasira kisibo;

30. era mu mmwe mwekka muliva abantu ngaboogera ebigambo ebikyamye, okuwalula abayigirizwa ennyuma waabwe.

31. Kale mutunule, mujjukire nga saalekanga kulabula n'amaziga buli muntu mu myaka esatu emisana n'ekiro.

32. Era ne kaakano mbasigira Katonda n'ekigambo eky'ekisa kye ekiyinza okuzimba n'okugaba obusika mu abo bonna abatukuzibwa.

33. Seegombanga ffeeza ya muntu yenna newakubadde zaabu newakubadde ekyambalo.

34. Mmwe mumanyi ng'emikono gino gye gyakolanga bye nneetaaga n'abo abali nange.

35. Mbalaze mu byonna bwe kibagwanira okukolanga emirimu bwe mutyo okuyambanga abatalina maanyi, n'okujjukiranga ebigambo bya Mukama waffe Yesu bwe yagamba ye yennyini nti Okugaba kwa mukisa okusinga okutoola.

36. Bwe yayogera bw'atyo n'afukamira n'asabira wamu nabo bonna.

37. Ne bakaaba nnyo bonna, ne bamugwa mu bulago Pawulo ne bamunywegera,

38. nga banakuwala okusinga byonna olw'ekigambo kye yayogera nti tebakyaddayo kumulaba. Ne bamuwerekerako okutuuka ku kyombo.

About Ebikolwa Chapter 20

Read Ebikolwa Chapter 20 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ebikolwa in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Ebikolwa
Chapter: 20
Testament: New Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Ebikolwa. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Ebikolwa Chapter 20 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Ebikolwa Chapter 20?

Ebikolwa Chapter 20 is part of the Book of Ebikolwa in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Ebikolwa Chapter 20 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from ebikolwa

  1. Ebikolwa Chapter 4
  2. Ebikolwa Chapter 3
  3. Ebikolwa Chapter 13
  4. Ebikolwa Chapter 11
  5. Ebikolwa Chapter 8
  6. Ebikolwa Chapter 2
  7. Ebikolwa Chapter 28

Explore More from Endagaano Empya

  1. Ebikolwa Chapter 10
  2. 1 Abakkolinso Chapter 11
  3. 1 Timoseewo Chapter 5
  4. Matayo Chapter 14
  5. Okubikkulirwa Chapter 2
  6. Abakkolosaayi Chapter 1
  7. Yokaana Chapter 17

Related Chapters & Readings

  1. 1 Bassekabaka Chapter 4
  2. Engero Chapter 13
  3. Ekyabalamuzi Chapter 3
  4. Yokaana Chapter 11
  5. Ebyabaleevi Chapter 26
  6. Ebyabaleevi Chapter 6
  7. 2 Samwiri Chapter 20
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *