Abakkolosaayi Chapter 1

For English

Read Abakkolosaayi Chapter 1 Online

Read Abakkolosaayi Chapter 1 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Abakkolosaayi in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Abakkolosaayi and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Abakkolosaayi 1

Essuula 1

1. Pawulo omutume wa Kristo Yesu olw'okwagala kwa Katonda, ne Timoseewo ow'oluganda,

2. eri abatukuvu, ab'oluganda abeesigwa mu Kristo ab'omu Kkolosaayi: ekisa kibeerenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe.

3. Twebaza Katonda Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, nga tubasabira ennaku zonna,

4. bwe twawulira okukkiriza kwammwe mu Kristo Yesu, n'okwagala kwe mulina eri abatukuvu bonna,

5. olw'essuubi eryabaterekerwa mu ggulu, lye mwawulira edda mu kigambo eky'amazima ag'enjiri,

6. eyajja gye muli; era nga bw'eri mu nsi zonna, ng'ebala ebibala era ng'ekula, era nga ne mu mmwe, okuva ku lunaku bwe mwawulira ne mutegeera ekisa kya

7. Katonda mu mazima; nga bwe mwayigirizibwa Epafula muddu mu nnaffe omwagalwa, ye muweereza omwesigwa owa Kristo ku lwaffe,

8. era eyatubuulira okwagala kwammwe mu Mwoyo.

9. Naffe kyetuva tetulekaayo, okuva ku lunaku bwe twawulira, okubasabira n'okubeegayirira mulyoke mujjuzibwe okutegeeranga by'ayagala mu magezi gonna n'okutegeera eby'Omwoyo,

10. okutambulanga nga bwe kisaanira Mukama waffe olw'okusiimibwa kwonna, nga mubalanga ebibala mu buli kikolwa ekirungi, era nga mukuliranga mu kutegeera Katonda;

11. nga muyinzisibwanga n'obuyinza bwonna, ng'amaanyi ag'ekitiibwa kye bwe gali, olw'okugumiikiriza kwonna n'okuzibiikiriza awamu n'okusanyuka;

12. nga mwebaza Kitaffe, eyatusaanyiza ffe omugabo ogw'obusika obw'abatukuvu mu musana,

13. eyatulokola mu buyinza obw'ekizikiza, n'atutwala mu bwakabaka obw'Omwana we omwagalwa;

14. mwe tubeerera n'okununulwa, kwe kusonyiyibwa kw'ebibi byaffe:

15. oyo kye kifaananyi kya Katonda atalabika, omubereberye ow'ebitonde byonna;

16. kubanga mu oyo ebintu byonna mwe byatonderwa, mu ggulu ne ku nsi, ebirabika n'ebitalabika, oba nga ntebe za bwakabaka, oba bwami, oba kufuga, oba masaza; ebintu byonna byatondebwa ye, era ne ku lulwe;

17. naye ye w'olubereberye mu byonna, era ebintu byonna bibeerawo mu ye.

18. Era oyo gwe mutwe gw'omubiri, ye kkanisa: oyo lwe lubereberye, omubereberye ow'omu bafu; ye alyoke abeerenga ow'olubereberye mu byonna.

19. Kubanga Kitaffe yasiima okutuukirira kwonna okubeeranga mu ye;

20. n'okutabaganyisa ebintu byonna eri ye yennyini mu ye, bwe yamala okuleeta emirembe olw'omusaayi gw'omusalaba gwe; mu ye okutabaganyisa oba eby'oku nsi oba eby'omu ggulu.

21. Nammwe, bwe mwali edda bannaggwanga era abalabe mu kulowooza kwammwe mu bikolwa ebibi, naye kaakano yabatabaganyisa

22. mu mubiri ogw'ennyama ye olw'okufa, okubanjula abatukuvu, abataliiko mabala abatanenyezebwa mu maaso ge:

23. bwe mubeera obubeezi mu kukkiriza, nga munywedde, nga temusagaasagana, so nga temuvudde mu ssuubi ly'enjiri gye mwawulira, eyabuulirwa mu bitonde byonna ebiri wansi w'eggulu; nze Pawulo gye nnafuukira omuweereza waayo.

24. Kaakano nsanyuse mu bibonoobono byange ku lwammwe, era ntuukiriza ebibulako mu kulaba ennaku kwa Kristo mu mubiri gwange olw'omubiri gwe, ye kkanisa;

25. nze gye nnafuukira omuweereza waayo, ng'obuwanika bwa Katonda bwe buli bwe nnaweebwa gye muli, okutuukiriza ekigambo kya Katonda,

26. ekyama ekyakwekebwa okuva edda n'edda n'emirembe n'emirembe: naye kaakano kyolesebbwa eri abatukuvu be,

27. Katonda be yayagala okutegeeza obugagga obw'ekitiibwa eky'ekyama kino bwe buli mu b'amawanga, ekyo ye Kristo mu mmwe, essuubi ery'ekitiibwa:

28. gwe tubuulira ffe, nga tulabula buli muntu, era nga tuyigiriza buli muntu mu magezi gonna, tulyoke twanjule buli muntu ng'atuukiridde mu Kristo;

29. n'okufuba kye nfubira era, nga mpakana ng'okukola kwe bwe kuli, okukolera mu nze n'amaanyi.

About Abakkolosaayi Chapter 1

Read Abakkolosaayi Chapter 1 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Abakkolosaayi in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Abakkolosaayi
Chapter: 1
Testament: New Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Abakkolosaayi. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Abakkolosaayi Chapter 1 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Abakkolosaayi Chapter 1?

Abakkolosaayi Chapter 1 is part of the Book of Abakkolosaayi in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Abakkolosaayi Chapter 1 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Abakkolosaayi

  1. Abakkolosaayi Chapter 4
  2. Abakkolosaayi Chapter 3
  3. Abakkolosaayi Chapter 2

Explore More from Endagaano Empya

  1. Ebikolwa Chapter 26
  2. Yakobo Chapter 2
  3. 2 Abakkolinso Chapter 7
  4. Lukka Chapter 1
  5. Yokaana Chapter 4
  6. Matayo Chapter 12
  7. Matayo Chapter 28

Related Chapters & Readings

  1. Ebikolwa Chapter 22
  2. Isaaya Chapter 53
  3. Okubala Chapter 14
  4. Zekkaliya Chapter 1
  5. Yeremiya Chapter 22
  6. Ekyabalamuzi Chapter 14
  7. Makko Chapter 14
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *