Abaebbulaniya Chapter 3

For English

Read Abaebbulaniya Chapter 3 Online

Read Abaebbulaniya Chapter 3 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Abaebbulaniya in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Abaebbulaniya and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Abaebbulaniya 3

Essuula 3

1. Kale, ab'oluganda abatukuvu, abalina omugabo mu kuyitibwa okw'omu ggulu, mulowooze Omutume era Kabona Asinga Obukulu ow'eddiini gwe twatula, Yesu;

2. eyali omwesigwa eri oyo eyamulonda, era nga Musa bwe yali omwesigwa mu nnyumba ye yonna.

3. Kubanga oyo asaanyizibwa ekitiibwa ekingi okusinga Musa, ng'azimba ennyumba bw'abeera n'ettendo eringi okusinga ennyumba.

4. Kubanga buli nnyumba wabaawo agizimba; naye eyazimba byonna ye Katonda.

5. Ne Musa yali mwesigwa ye mu nnyumba ye yonna ng'omuddu, olw'okutegeeza ebyali bigenda okwogerwa;

6. naye Kristo yali mwesigwa ye ng'omwana ku nnyumba ye; naffe tuli nnyumba y'oyo, oba nga tunaakwatiranga ddala obuvumu bwaffe n'okwenyumiriza okw'okusuubira kwaffe nga binywedde okutuusa enkomerero.

7. Kale, nga Omwoyo Omutukuvu bw'ayogera nti Leero bwe munaawulira eddoboozi lye,

8. Temukakanyaza mitima gyammwe, nga mu kusunguwazibwa, Nga ku lunaku olw'okukemerwa mu ddungu,

9. Bajjajjammwe kwe bankema, nga bangeza, Ne balaba ebikolwa byange emyaka amakumi ana.

10. Kyennava nnyiigira emirembe egyo, Ne njogera nti Bakyama bulijjo mu mutima gwabwe: Naye abo tebaategeera makubo gange;

11. Nga bwe nnalayira mu busungu bwange, Nti Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.

12. Mwekuume, ab'oluganda, omutima omubi ogw'obutakkiriza gulemenga okuba mu muntu yenna ku mmwe, olw'okuva ku Katonda omulamu:

13. naye mubuuliraganenga bulijjo bulijjo, okutuusa ekiseera nga kikyaliwo ekiyitibwa ekya leero; omuntu yenna ku mmwe alemenga okukakanyazibwa n'obulimba bw'ekibi:

14. kubanga twafuuka abassa ekimu mu Kristo, oba nga tunaakwatiranga ddala okusuubira kwaffe okusoose nga kunywedde okutuusa enkomerero:

15. nga bwe kikyayogerwa nti Leero bwe munaawulira eddoboozi lye, Temukakanyaza mitima gyammwe, nga mu kusunguwazibwa.

16. Kubanga baani bwe baawulira abaamusunguwaza? si abo bonna abaava mu Misiri ne Musa?

17. Era baani be yanyiigiranga emyaka amakumi ana? si abo abaayonoona, n'emirambo gyabwe ne gigwa mu ddungu?

18. Era baani be yalayirira obutayingira mu kiwummulo kye, wabula obo abataagonda?

19. Era tulaba nga tebaayinza kuyingira olw'obutakkiriza.

About Abaebbulaniya Chapter 3

Read Abaebbulaniya Chapter 3 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Abaebbulaniya in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Abaebbulaniya
Chapter: 3
Testament: New Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Abaebbulaniya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Abaebbulaniya Chapter 3 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Abaebbulaniya Chapter 3?

Abaebbulaniya Chapter 3 is part of the Book of Abaebbulaniya in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Abaebbulaniya Chapter 3 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from abaebbulaniya

  1. Abaebbulaniya Chapter 2
  2. Abaebbulaniya Chapter 5
  3. Abaebbulaniya Chapter 4
  4. Abaebbulaniya Chapter 13
  5. Abaebbulaniya Chapter 12
  6. Abaebbulaniya Chapter 10
  7. Abaebbulaniya Chapter 6

Explore More from Endagaano Empya

  1. Abaruumi Chapter 9
  2. Makko Chapter 13
  3. 1 Timoseewo Chapter 4
  4. 1 Yokaana Chapter 5
  5. 1 Abakkolinso Chapter 7
  6. Abaefeeso Chapter 1
  7. Okubikkulirwa Chapter 19

Related Chapters & Readings

  1. Zabbuli Chapter 121
  2. Engero Chapter 29
  3. Yokaana Chapter 2
  4. Nekkemiya Chapter 2
  5. Yobu Chapter 1
  6. Okuva Chapter 11
  7. Yona Chapter 4
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *