Lukka Chapter 20

For English

Read Lukka Chapter 20 Online

Read Lukka Chapter 20 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Lukka in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Lukka and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Lukka 20

Essuula 20

1. Awo olwatuuka ku lunaku lumu ku ezo, yali ng'ayigiriza abantu mu yeekaalu, ng'abuulira enjiri, bakabona abakulu n'abawandiisi wamu n'abakadde ne bamujjira;

2. ne boogera nga bamugamba nti Tubuulire; buyinza ki obukukoza bino? Oba ani eyakuwa obuyinza obwo?

3. N'addamu n'abagamba nti Nange ka mbabuuze ekigambo kimu; mumbulire:

4. okubatiza kwa Yokaana kwava mu ggulu nantiki mu bantu?

5. Ne bateesa bokka na bokka, nga bagamba nti Bwe tunaagamba Kwava mu ggulu; anaagamba nti Kiki ekyabalobera okumukkiriza?

6. Naye bwe tunaagamba nti Kwava mu bantu; abantu bonna banaatukuba amayinja: kubanga bakkiririza ddala Yokaana okuba nnabbi.

7. Ne baddamu nti tebamanyi gye kwava.

8. Yesu n'abagamba nti Kale nange siibabuulire mmwe buyinza obunkoza bino gye bwava.

9. N'asooka okubuulira abantu olugero luno nti Omuntu omu yasimba olusuku lw'emizabbibu, n'alusigira abalimi, n'agenda mu nsi endala n'alwayo.

10. Awo mu biro by'omwaka abalimi n'abatumira omuddu, bamuwe ku bibala by'omu lusuku lw'emizabbibu: naye abalimi ne bamukuba, ne bamusindika nga talina kintu.

11. N'ayongera okutuma omuddu omulala; n'oyo ne bamukuba, ne bamuswaza ne bamusindika nga talina kintu.

12. N'ayongera okutuma ow'okusatu: n'oyo naye ne bamufumita ne bamugoba.

13. Oyo mukama w'olusuku lw'emizabbibu n'agamba nti Nnaakola ntya? Ka ntume omwana wange omwagalwa: mpozzi oyo balimussaamu ekitiibwa.

14. Naye abalimi bwe baamulaba, ne bateesa bokka na bokka, nga bagamba nti Ono ye musika: tumutte, obusika bube bwaffe.

15. Ne bamugoba mu lusuku lw'emizabbibu, ne bamutta. Kale alibakola atya mukama w'olusuku lw'emizabbibu?

16. Alijja n'azikiriza abalimi abo, n'olusuku lw'emizabbibu aliruwa abalala. Bwe baawulira ebyo, ne bagamba nti Bireme okubaawo.

17. Naye ye n'abatunuulira n'agamba nti Kale kiki kino ekyawandiikibwa nti Ejjinja abazimbi lye baagaana, Eryo lye lyafuuka omutwe ogw'oku nsonda?

18. Buli agwa ku jjinja eryo alimenyekamenyeka; naye oyo gwe lirigwako, lirimufuumuula ng'enfuufu.

19. Awo abawandiisi ne bakabona abakulu ne basala amagezi okumussaako emikono mu kiseera ekyo; ne batya abantu; kubanga baategeera nti ku bo kw'ageredde olugero olwo.

20. Ne bamulabirira, ne batuma abakessi nga beefuula abatuukirivu, balandukire ku bigambo bye, balyoke bamuweeyo eri okufuga okw'owessaza n'eri obuyinza bwe.

21. Ne bamubuuza, nga bagamba nti Omuyigiriza, tumanyi ng'oyogera era ng'oyigiriza eby'amazima, so tososola mu bantu, naye oyigiriza mazima ekkubo lya Katonda:

22. kirungi ffe okuwanga Kayisaali omusolo, nantiki si weewaawo?

23. Naye n'ategeera obukuusa bwabwe, n'abagamba nti Mundage eddinaali.

24. Ekifaananyi ekiriko n'obuwandiikeko by'ani? Bo ne bagamba nti Bya Kayisaali.

25. N'abagamba nti Kale ebya Kayisaali mumusasulenga Kayisaali, n'ebya Katonda mumusasulenga Katonda.

26. Ne batayinza kuggya nsonga mu kigambo ekyo mu maaso g'abantu, ne beewuunya ky'azzeemu, ne basirika.

27. Abasaddukaayo abamu ne bajja gy'ali, abagamba nti tewali kuzuukira; ne bamubuuza,

28. nga bagamba nti Omuyigiriza, Musa yatuwandiikira nti Muganda w'omuntu bw'afanga ng'alina omukazi, nga talina mwana, muganda we awase omukazi oyo addizeewo muganda we ezzadde.

29. Kale waaliwo ab'oluganda musanvu: ow'olubereberye n'awasa omukazi, n'afa nga talina mwana;

30. n'ow'okubiri;

31. n'ow'okusatu n'amuwasa; era bwe batyo bali omusanvu ne bafa, ne batalekaawo baana.

32. Oluvannyuma n'omukazi n'afa.

33. Kale mu kuzuukira aliba muka ani ku abo? kubanga bonna omusanvu baamuwasa.

34. Yesu n'abagamba nti Abaana b'ensi eno bawasa, bafumbizibwa:

35. naye bali abasaanyizibwa okutuuka mu nsi eyo ne mu kuzuukira okw'omu bafu, tebawasa, so tebafumbizibwa:

36. kubanga n'okufa tebayinza kufa nate: kubanga bali nga bamalayika; era be baana ba Katonda, nga bwe bali abaana b'okuzuukira.

37. Okumanya ng'abafu bazuukira, ne Musa yakiraga ku Kisaka bwe yamuyita Mukama Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo.

38. Naye ye si Katonda wa bafu, naye wa balamu: kubanga bonna baba balamu ku bubwe.

39. Abawandiisi abamu ne baddamu, nga bagamba nti Omuyigiriza, oyogedde bulungi.

40. Kubanga tebaayaŋŋanga kumubuuza kigambo kyonna nate.

41. N'abagamba nti Boogera batya nga Kristo ye mwana wa Dawudi?

42. Kubanga Dawudi yennyini ayogera mu kitabo kya Zabbuli nti Mukama yagamba Mukama wange nti Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo,

43. Okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebbe y'ebigere byo.

44. Dawudi amuyita Mukama we, kale mwana we atya?

45. Awo abantu bonna bwe baali nga bamuwulira, n'agamba abayigirizwa be nti

46. Mwekuumenga abawandiisi; abaagala okutambuliranga mu ngoye empanvu, abaagala okulamusibwanga mu butale, n'entebe ez'oku mwanjo mu makuŋŋaaniro, n'ebifo eby'ekitiibwa ku mbaga;

47. abanyaga ennyumba za bannamwandu, abasaba ennyo mu bunnanfuusi: abo balisalirwa omusango ogusinga obunene.

About Lukka Chapter 20

Read Lukka Chapter 20 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Lukka in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Lukka
Chapter: 20
Testament: New Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Lukka. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Lukka Chapter 20 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Lukka Chapter 20?

Lukka Chapter 20 is part of the Book of Lukka in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Lukka Chapter 20 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Empya

  1. Ebikolwa Chapter 4
  2. Ebikolwa Chapter 3
  3. Ebikolwa Chapter 13
  4. Ebikolwa Chapter 11
  5. Ebikolwa Chapter 8
  6. Ebikolwa Chapter 2
  7. Ebikolwa Chapter 28

Explore More from lukka

  1. Lukka Chapter 16
  2. Lukka Chapter 19
  3. Lukka Chapter 24
  4. Lukka Chapter 11
  5. Lukka Chapter 23
  6. Lukka Chapter 12
  7. Lukka Chapter 10

Related Chapters & Readings

  1. 2 Bassekabaka Chapter 6
  2. Isaaya Chapter 26
  3. Olubereberye Chapter 10
  4. 2 Ebyomumirembe Chapter 23
  5. Yeremiya Chapter 35
  6. Yeremiya Chapter 6
  7. Yeremiya Chapter 44
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *