1 Timoseewo Chapter 2

For English

Read 1 Timoseewo Chapter 2 Online

Read 1 Timoseewo Chapter 2 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 1 Timoseewo in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of 1 Timoseewo and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

1 Timoseewo 2

Essuula 2

1. Kale okusooka byonna mbabuulirira okwegayiriranga n'okusabanga n'okutakabananga n'okwebazanga bikolebwenga ku lw'abantu bonna;

2. ku lwa bakabaka n'abakulu bonna; tulyoke tubeerenga n'obulamu obutereevu obw'emirembe mu kutya Katonda kwonna ne mu kwegendereza.

3. Ekyo kye kirungi, ekikkirizibwa mu maaso g'Omulokozi waffe Katonda,

4. ayagala abantu bonna okulokoka, era okutuuka mu kutegeerera ddala amazima.

5. Kubanga waliwo Katonda omu, era omutabaganya wa Katonda n'abantu omu, omuntu Kristo Yesu,

6. eyeewaayo abe omutango olwa bonna; okutegeeza kulibaawo mu ntuuko zaakwo:

7. nze kwe nnateekerwa omubuulizi era omutume (njogera mazima, ssirimba), omuyigiriza w'amawanga olw'okukkiriza n'amazima.

8. Kyenva njagala abasajja basabenga mu buli kifo, nga bayimusa emikono emitukuvu, awatali busungu na mpaka.

9. Bwe batyo n'abakazi beeyonjenga mu byambalo ebisaana, n'okukwatibwa ensonyi n'okwegendereza; si mu kulanganga enviiri, ne zaabu oba luulu oba engoye ez'omuwendo omungi;

10. naye (nga bwe kisaanira abakazi abeeyita abatya Katonda) n'ebikolwa ebirungi.

11. Omukazi ayigenga mu bukkakkamu mu kugonda kwonna.

12. Naye omukazi mmugaanyi okuyigirizanga, newakubadde okufuganga omusajja, naye okubeeranga mu bukkakkamu.

13. Kubanga Adamu ye yasooka okutondebwa, oluvannyuma Kaawa;

14. era Adamu si ye yalimbibwa, naye omukazi oli ye yalimbibwa n'aba mu kwonoona:

15. naye anaalokokanga mu kuzaala, bwe banaanyiikiranga mu kukkiriza n'okwagala n'obutukuvu awamu n'okwegendereza.

About 1 Timoseewo Chapter 2

Read 1 Timoseewo Chapter 2 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 1 Timoseewo in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: 1 Timoseewo
Chapter: 2
Testament: New Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading 1 Timoseewo. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading 1 Timoseewo Chapter 2 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is 1 Timoseewo Chapter 2?

1 Timoseewo Chapter 2 is part of the Book of 1 Timoseewo in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete 1 Timoseewo Chapter 2 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from 1-timoseewo

  1. 1 Timoseewo Chapter 6
  2. 1 Timoseewo Chapter 5
  3. 1 Timoseewo Chapter 4
  4. 1 Timoseewo Chapter 3
  5. 1 Timoseewo Chapter 1

Explore More from Endagaano Empya

  1. 1 Abakkolinso Chapter 3
  2. Makko Chapter 14
  3. Abaruumi Chapter 2
  4. Ebikolwa Chapter 7
  5. Matayo Chapter 14
  6. Ebikolwa Chapter 5
  7. Abaebbulaniya Chapter 11

Related Chapters & Readings

  1. Ekyabalamuzi Chapter 17
  2. Zabbuli Chapter 20
  3. Ekyamateeka Chapter 5
  4. Yeremiya Chapter 52
  5. Koseya Chapter 10
  6. Okubala Chapter 32
  7. 1 Abakkolinso Chapter 5
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *