Malaki Chapter 3

For English

Read Malaki Chapter 3 Online

Read Malaki Chapter 3 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Malaki in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Malaki and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Malaki 3

Essuula 3

1. Laba, ntuma omubaka wange; naye alirongoosa ekkubo mu maaso gange: era Mukama gwe munoonya alijja mu yeekaalu ye nga tebamanyiridde; n'omubaka w'endagaano gwe musanyukira, laba, ajja; bw'ayogera Mukama w'eggye.

2. Naye ani ayinza okugumiikiriza olunaku olw'okujja kwe? era ani aliyimirira ye bw'alirabika? kubanga aliŋŋanga omuliro gw'oyo alongoosa effeeza, era nga sabbuuni ow'aboozi:

3. era alituula ng'oyo alongoosa effeeza n'agimalamu amasengere, era alirongoosa batabani ba Leevi, era alibasengejja ng'ezaabu n'effeeza; awo baliwaayo eri Mukama ebiweebwayo mu butuukirivu.

4. Awo ekiweebwayo ekya Yuda ne Yerusaalemi ne kiryoka kisanyusa Mukama nga mu nnaku ez'edda era nga mu myaka egyayitawo.

5. Era ndibasemberera okusala omusango; era ndiba mujulirwa mwangu eri abalogo n'eri abenzi n'eri abalayira eby'obulimba; n'eri abo abalyazaamaanya omupakasi empeera ye; nnamwandu n'atalina kitaawe, era abagoba munnaggwanga obutamuwa bibye, so tebantya, bw'ayogera Mukama w'eggye.

6. Kubanga nze Mukama sijjulukuka: mmwe, batabani ba Yakobo, kyemuva mulema okumalibwawo.

7. Okuva ku nnaku za bajjajjammwe nga mukyuka okukyama mu biragiro byange, so temubikwatanga: Mudde gye ndi, nange nadda gye muli, bw'ayogera Mukama w'eggye. Naye mwogera nt Tunadda tutya?

8. Omuntu alinyaga Katonda? naye mmwe munnyaga nze. Naye mwogera nti Twakunyaga tutya? Mwannyagako ebitundu eby'ekkumi n'ebiweebwayo.

9. Mukolimiddwa ekikolimo ekyo; kubanga munnyaga nze; eggwanga lino lyonna.

10. Muleete ekitundu eky'ekkumi ekiramba mu ggwanika, ennyumba yange ebeeremu emmere, era munkeme nakyo, bwayogera Mukama w'eggye, oba nga siribaggulirawo ebituli eby'omu ggulu, ne mbafukira omukisa, ne wataba na bbanga weguligya.

11. Era ndinenya omuli ku lwammwe, so talizikiriza bibala bya ttaka lyammwe; so n'omuzabbibu gwammwe tegulikunkumula bibala byagwo mu nnimiro entuuko nga tezinnatuuka, bw'ayogera Mukama w'eggye.

12. Era amawanga gonna galibayita ba mukisa: kubanga muliba nsi esanyusa, bw'ayogera Mukama w'eggye.

13. Ebigambo byammwe byabanga biwaganyavu eri nze, bw'ayogera Mukama. Era naye mwogera nti Twakwogerako tutya?

14. Mwayogera nti Okuweereza Katonda kwa bwereere: era kugasa ki nga tukutte ebyo bye yakuutira, era nga tutambulidde mu maaso ga Mukama w'eggye nga tutokooteredde?

15. Era kaakano ab'amalala betuyita ab'omukisa: weewaawo, abo abakola obubi bazimbibwa; weewaawo, bakema Katonda ne bawonyezebwa.

16. Awo abo abaatya Mukama ne boogeragana bokka na bokka: Mukama n'awuliriza n'awulira, ekitabo eky'okujjukiza ne kibawandiikirwa mu maaso ge abo abaatya Mukama ne balowooza erinya lye.

17. Era baliba bange, bw’ayogera Mukama w'eggye, ku lunaku lwe ndikolerako, baliba kintu kya nvuma; era ndibasonyiwa ng'omusajja bw'asonyiwa mutabani we ye amuweereza.

18. Awo lwe mulidda ne mwawula omutuukirivu n'omubi, oyo aweereza Katonda n'oyo atamuweereza.

About Malaki Chapter 3

Read Malaki Chapter 3 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Malaki in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Malaki
Chapter: 3
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Malaki. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Malaki Chapter 3 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Malaki Chapter 3?

Malaki Chapter 3 is part of the Book of Malaki in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Malaki Chapter 3 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 23
  2. Engero Chapter 17
  3. Engero Chapter 16
  4. Engero Chapter 12
  5. Engero Chapter 28
  6. Engero Chapter 14
  7. Engero Chapter 13

Explore More from malaki

  1. Malaki Chapter 4
  2. Malaki Chapter 3
  3. Malaki Chapter 1
  4. Malakí Chapter 1
  5. Malaki Chapter 1
  6. Malaki Chapter 3
  7. Malakí Chapter 4

Related Chapters & Readings

  1. Okubikkulirwa Chapter 9
  2. Olubereberye Chapter 26
  3. 2 Abakkolinso Chapter 12
  4. Ekyabalamuzi Chapter 1
  5. 1 Ebyomumirembe Chapter 19
  6. Nakumu Chapter 2
  7. 2 Bassekabaka Chapter 25
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *