Lukka Chapter 21

For English

Read Lukka Chapter 21 Online

Read Lukka Chapter 21 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Lukka in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Lukka and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Lukka 21

Essuula 21

1. Awo n'ayimusa amaaso, n'alaba abagagga abaali basuula ebirabo byabwe mu ggwanika.

2. N'alaba nnamwandu omu omwavu ng'asuula omwo ebitundu by'eppeesa bibiri.

3. N'agamba nti Mazima mbagamba nti Nnamwandu ono omwavu asuddemu bingi okusinga bonna:

4. kubanga abo bonna basuddemu ku bibafikkiridde mu birabo: naye oyo mu kwetaaga kwe asuddemu byonna by'ali nabyo, bwe bulamu bwe bwonna.

5. Era abamu bwe baali boogera ku yeekaalu, bwe yayonjebwa n'amayinja amalungi n'ebiweebwayo, n'agamba nti

6. Bino bye mulaba, ennaku zigenda kujja, lwe watalirekebwa jjinja eriri ku jjinja wano eritalisuulibwa.

7. Ne bamubuuza nga bagamba nti Omuyigiriza, kale ebyo biribaawo ddi? Kabonero ki akalibaawo ebyo bwe biriba nga bigenda okubaawo?

8. N'agamba nti Mutunule muleme okukyamizibwa; kubanga bangi abalijja n'erinnya lyange, nga boogera nti Nze nzuuno; era nti Obudde bunaatera okutuuka: temubagobereranga.

9. Era bwe muwuliranga entalo n'ebikankano, temwekanga: kubanga ebyo kibigwanira okusooka okujja; naye enkomerero terituuka mangu ago.

10. N'alyoka abagamba nti Eggwanga lirirumba eggwanga, n'obwakabaka bulirumba obwakabaka;

11. walibaawo n'ebikankano ebinene, ne mu bifo ebirala enjala ne kawumpuli; walibaawo n'ebitiisa n'obubonero obunene obuva mu ggulu.

12. Naye ebyo byonna nga tebinnabaawo, balibassaako emikono, balibayigganya, nga babawaayo mu makuŋŋaaniro ne mu makomera nga babatwala eri bakabaka n'abaamasaza olw'erinnya lyange.

13. Kiriba mujulirwa gye muli.

14. Kale mukiteeke mu mitima gyammwe, obutasookanga kulowooza bye muliddamu:

15. kubanga nze ndibawa akamwa n'amagezi, abalabe bammwe bonna bye bataliyinza kuwakana nabyo newakubadde okubigaana.

16. Naye muliweebwayo abazadde bammwe, n'ab'oluganda, n'ab'ekika, n'ab'omukwano; n'abamu ku mmwe balibassa.

17. Nammwe mulikyayibwa bonna olw'erinnya lyange.

18. N'oluviiri olw'oku mitwe gyammwe terulibula n'akatono.

19. Mu kugumiikiriza kwammwe mulifuna obulamu bwammwe.

20. Naye bwe muliraba Yerusaalemi nga kyetooloddwa eggye, ne mulyoka mutegeera nti okuzikirira kwakyo kunaatera okutuuka.

21. Mu biro ebyo ababanga mu Buyudaaya baddukiranga ku nsozi; n'ababanga wakati mu kyo bakifulumangamu; n'ababanga mu byalo tebakiyingirangamu.

22. Kubanga ezo ze nnaku ez'okuwalana eggwanga, ebyawandiikibwa byonna biryoke bituukirire.

23. Ziribasanga abaliba n'embuto n'abayonsa mu nnaku ezo! kubanga waliba okulaba ennaku ennyingi ku nsi n'obusungu eri abantu abo.

24. Balittibwa n'obwogi bw'ekitala, balinyagibwa okutwalibwa mu mawanga gonna; ne Yerusaalemi kiririnnyirirwa ab'amawanga okutuusa ebiro by'ab'amawanga lwe birituukirira.

25. Era walibaawo n'obubonero ku njuba ne ku mwezi ne ku mmunyeenye; ne ku nsi amawanga galinakuwala, nga basamaalirira olw'okuwuuma kw'ennyanja n'amayengo;

26. abantu nga bazirika olw'entiisa n'olw'okutunuulira ebyo ebijja ku nsi: kubanga amaanyi ag'omu ggulu galikankanyizibwa.

27. Ne balyoka balaba Omwana w'omuntu ng'ajjira mu kire n'amaanyi n'ekitiibwa kinene.

28. Naye ebigambo ebyo bwe bitanulanga okubaawo mutunulanga waggulu, muyimusanga emitwe gyammwe: kubanga okununulibwa kwammwe kunaatera okutuuka.

29. N'abagamba olugero; nti Mulabe omutiini n'emiti gyonna;

30. kale bwe gitojjera, mulaba ne mutegeera mwekka, nti kaakano okukungula kuli kumpi.

31. Era nammwe bwe mutyo, bwe mulabanga ebyo nga bibaawo mumanyanga, nti obwakabaka bwa Katonda buli kumpi:

32. Mazima mbagamba nti Emirembe gino tegiriggwaawo n'akatono okutuusa ebyo byonna lwe biribaawo.

33. Eggulu n'ensi biriggwaawo; naye ebigambo byange tebiriggwaawo n'akatono.

34. Naye mwekuumenga emitima gyammwe gireme okuzitoowererwanga olw'obuluvu n'okutamiiranga n'okweraliikiriranga eby'obulamu buno, era olunaku luli luleme okubatuukako ng'ekyambika;

35. kubanga bwe lutyo bwe lulituuka ku bonna abali ku nsi yonna.

36. Naye mutunulenga mu biro byonna musabenga musobole okudduka ebyo byonna ebigenda okubaawo n'okuyimirira mu maaso g'Omwana w'omuntu.

37. Awo buli lunaku yayigirizanga mu yeekaalu; bwe bwazibanga n'afuluma n'asula ku lusozi oluyitibwa olwa Zeyituuni.

38. Abantu bonna ne bakeeranga enkya okugenda gy'ali mu yeekaalu okumuwulira.

About Lukka Chapter 21

Read Lukka Chapter 21 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Lukka in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Lukka
Chapter: 21
Testament: New Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Lukka. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Lukka Chapter 21 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Lukka Chapter 21?

Lukka Chapter 21 is part of the Book of Lukka in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Lukka Chapter 21 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Empya

  1. Ebikolwa Chapter 3
  2. Ebikolwa Chapter 4
  3. Ebikolwa Chapter 13
  4. Ebikolwa Chapter 2
  5. Ebikolwa Chapter 1
  6. Ebikolwa Chapter 27
  7. Ebikolwa Chapter 28

Explore More from lukka

  1. Lukka Chapter 3
  2. Lukka Chapter 8
  3. Lukka Chapter 2
  4. Lukka Chapter 23
  5. Lukka Chapter 19
  6. Lukka Chapter 9
  7. Lukka Chapter 10

Related Chapters & Readings

  1. Yakobo Chapter 4
  2. Matayo Chapter 16
  3. Matayo Chapter 11
  4. Zabbuli Chapter 4
  5. Makko Chapter 9
  6. 2 Peetero Chapter 1
  7. Zabbuli Chapter 25
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *