Read Firemooni Chapter 1 Online
Read Firemooni Chapter 1 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Firemooni in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Firemooni and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Firemooni 1
Essuula 1
1. Pawulo, omusibe wa Kristo Yesu ne Timoseewo ow'oluganda, eri Firemooni omwagalwa era mukozi munnaffe,
2. ne Apofiya ow'oluganda ne Alukipo mulwanyi munnaffe, n'ekkanisa eri mu nnyumba yo:
3. ekisa n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bibeerenga gye muli.
4. Nneebaza Katonda wange ennaku zonna, nga nkwogerako mu kusaba kwange,
5. bwe nnawulira okwagala kwo n'okukkiriza kw'olina eri Mukama waffe Yesu n'eri abatukuvu bonna;
6. okussa ekimu okw'okukkiriza kwo kulyoke kukolenga omulimu, mu kutegeerera ddala buli kigambo ekirungi ekiri mu mmwe, olwa Kristo.
7. Kubanga nnajaguza nnyo ne nsanyuka olw'okwagala kwo, kubanga emyoyo gy'abatukuvu wagiwummuza, ow'oluganda.
8. Kale, newakubadde nga nnina obuvumu bwonna mu Kristo okukulagira ekisaana,
9. naye olw'okwagala nkwegayirira bwegayirizi, kuba nfaanana nga bwe ndi, Pawulo omukadde, era kaakano omusibe wa Kristo Yesu:
10. nkwegayirira olw'omwana wange, gwe nnazaalira mu busibe bwange, Onnessimo,
11. ataakugasanga edda, naye kaakano atugasa ggwe nange:
12. gwe nkomyawo gy'oli yennyini, ye gwe mwoyo gwange:
13. nze gwe mbadde njagala okubeera naye gye ndi, alyoke ampeerezenga mu kifo kyo mu busibe bw'enjiri:
14. naye ssaayagala kukola kigambo nga toteesezza, obulungi bwo buleme okubeera mu kuwalirizibwa, wabula mu kwagala.
15. Kubanga mpozzi kyeyava ayawukana naawe ekiseera, olyoke obeerenga naye emirembe n'emirembe;
16. nga takyali muddu nate, naye okusinga omuddu, ow'oluganda omwagalwa, okusinga ennyo gye ndi, naye okusingira ddala eri ggwe mu mubiri era ne mu Mukama waffe.
17. Kale oba ng'ondowooza nze okubeera munno, musembeze oyo nga nze.
18. Naye oba nga yakwonoona oba abanjibwa, mbalira nze ekyo;
19. nze Pawulo mpandiise n'omukono gwange, nze ndisasula: nneme okukugamba nga nkubanja era naawe wekka nate.
20. Kale, ow'oluganda, onsanyuse mu Mukama waffe: owummuze omwoyo gwange mu Kristo.
21. Nkuwandiikidde nga nneesiga obugonvu bwo, nga mmanyi ng'olikola era okusinga bye njogera.
22. Naye era nate onnongoosereze aw'okusula: kubanga nsuubira olw'okusaba kwammwe muliweebwa okundaba.
23. Epafula musibe munnange mu Kristo Yesu, akulamusizza;
24. ne Makko, Alisutaluuko, Dema, Lukka, bakozi bannange.
25. Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga n'omwoyo gwammwe. Amiina.
About Firemooni Chapter 1
Read Firemooni Chapter 1 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Firemooni in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Firemooni
Chapter: 1
Testament: New Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Firemooni. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Firemooni Chapter 1 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Firemooni Chapter 1?
Firemooni Chapter 1 is part of the Book of Firemooni in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Firemooni Chapter 1 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Empya
- Ebikolwa Chapter 4
- Ebikolwa Chapter 3
- Ebikolwa Chapter 13
- Ebikolwa Chapter 11
- Ebikolwa Chapter 8
- Ebikolwa Chapter 2
- Yakobo Chapter 5