Yakobo Chapter 3

For English

Read Yakobo Chapter 3 Online

Read Yakobo Chapter 3 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yakobo in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Yakobo and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Yakobo 3

Essuula 3

1. Temubeeranga bayigiriza bangi, baganda bange, nga mumanyi nga tulisalirwa omusango ogusinga obunene.

2. Kubanga mu bingi tusobya fenna. Omuntu yenna bw'atasobya mu kigambo, oyo ye muntu eyatuukirira, ayinza okuziyiza era n'omubiri gwe gwonna.

3. Naye bwe tuteeka ebyuma eby'embalaasi mu mimwa gyazo ziryoke zitugonderenga, tuyinza okufuga emibiri gyazo gyonna.

4. Laba, era n’amaato, newakubadde nga manene bwe gatyo, era nga gatwalibwa empewo ez'amaanyi, enkasi entono ennyo ye egagoba yonna yonna omugoba gy'asiima mu kwagala kwe.

5. Era n’olulimi bwe lutyo kye kitundu ekitono, ne lwenyumiriza nnyo. Laba, emiti emingi egyenkanidde awo okwokebwa akaliro akatono bwe katyo.

6. N'olulimi muliro: ensi ey'obubi mu bitundu byaffe lwe lulimi, olwonoona omubiri gwonna, era olukoleeza nnamuziga w'ebitonde byonna, era olukoleezebwa Ggeyeena.

7. Kubanga buli ngeri ey'ensolo n'ennyonyi n'ebyewalula n'ebyennyanja bifugika era byafugibwa abantu:

8. naye olulimi siwali muntu ayinza kulufuga; bubi obutaziyizika, lujjudde obusagwa obutta.

9. Olwo lwe tutenderezesa Mukama waffe ye Kitaffe; era olwo lwe tukolimiza abantu abaakolerwa mu kifaananyi kya Katonda:

10. mu kamwa akamu mwe muva okutendereza n'okukolima. Baganda bange, ebyo tekibigwanira kubeera bwe bityo.

11. Ensulo ekulukuta amazzi amalungi n'agakaawa mu liiso erimu?

12. Omutiini guyinza, baganda bange, okubala ezeyituuni, oba omuzabbibu okubala ettiini? So amazzi ag'omunnyo tegayinza kuvaamu malungi.

13. Ani alina amagezi n'okutegeera mu mmwe? Alagenga mu mpisa ennungi ebikolwa bye mu magezi amawombeefu.

14. Naye bwe muba n'obuggya obukambwe n'okuyomba mu mutima gwammwe, temwenyumirizanga so temulimbanga okuziyiza amazima.

15. Amagezi gano si ge gakka okuva waggulu, naye ga mu nsi, ga buzaaliranwa, ga Setaani.

16. Kubanga awaba obuggya n'okuyomba, we waba okutabuka na buli kikolwa ekibi.

17. Naye amagezi agava waggulu okusooka malongoofu, nate ga mirembe, mawombeefu, mawulize, agajjudde okusaasira n'ebibala ebirungi, agatalina kwawula, agatalina bunnanfuusi.

18. Era ekibala eky'obutuukirivu kisigibwa mu mirembe eri abo abaleeta emirembe.

About Yakobo Chapter 3

Read Yakobo Chapter 3 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yakobo in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Yakobo
Chapter: 3
Testament: New Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Yakobo. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Yakobo Chapter 3 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Yakobo Chapter 3?

Yakobo Chapter 3 is part of the Book of Yakobo in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Yakobo Chapter 3 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Empya

  1. Ebikolwa Chapter 3
  2. Ebikolwa Chapter 4
  3. Ebikolwa Chapter 13
  4. Ebikolwa Chapter 2
  5. Ebikolwa Chapter 1
  6. Ebikolwa Chapter 27
  7. Ebikolwa Chapter 28

Explore More from yakobo

  1. Yakobo Chapter 3
  2. Yakobo Chapter 5
  3. Yakobo Chapter 5
  4. Yakobo Chapter 2
  5. Yakobo Chapter 4
  6. Yakobo Chapter 4
  7. Yakobo Chapter 1

Related Chapters & Readings

  1. Olubereberye Chapter 48
  2. Olubereberye Chapter 17
  3. Zekkaliya Chapter 5
  4. Ebikolwa Chapter 4
  5. Ebyabaleevi Chapter 8
  6. Olubereberye Chapter 50
  7. Koseya Chapter 12
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *